(Download) "Obubaka bw’Omusalaba : The Message of the Cross (Luganda Edition)" by Dr. Jaerock Lee ~ Book PDF Kindle ePub Free
eBook details
- Title: Obubaka bw’Omusalaba : The Message of the Cross (Luganda Edition)
- Author : Dr. Jaerock Lee
- Release Date : January 19, 2013
- Genre: Christianity,Books,Religion & Spirituality,
- Pages : * pages
- Size : 9710 KB
Description
Obubaka bw’Omusalaba kitabo ekikulembeddemu abakrisitaayo bangi eri ekkubo ly’obulokozi okuva mu mwaka gwa 1986 era n’ekyolesa eby’amagero bingi nnyo eby’omwoyo omutukuvu okuyita mu Kuluseedi eziteereddwa emitala w’amayanja. Katonda amaze n’ansobozesa okukifulumya. Muddiza ekitiibwa n’ettendo!
Abantu bangi bagamba nti bakkiririza mu Katonda Omutonzi w’eggulu n’ensi, nti era bamanyi bulungi okwagala kw’omwana We Yesu Kristo. Naye tebasobola kubuulira njiri nga beekakasa. Era eky’amazima kiri nti, Abakristaayo batono ddala abategeera omutima N’okufaayo kwa Katonda. Era abakristaayo abamu bawukana ku Katonda kubanga tebafunye kyakuddibwamu bulungi eri ebibuuzo bingi ebiri mu Baibuli n’obutatageera kufaayo n’okwagala kwa Katonda okutali kwangu kutegeera.
Okugeza, Singa obuuziddwa ebibuuzo bino ebisatu, oyinza kuddamu otya? “Lwaki Katonda Yateekawo omuti Gw’okumanya Obulungi n’obubi, ate n’aleka omuntu n’agulyako ebibala?” “Lwaki Katonda yateekayo ggeyeena wadde nga yawaayo omwana we Yesu Kristo olw’abonoonyi?” era “Lwaki Yesu ye Mulokozi yekka?”
Nali nemereddwa okutegeera ekigendererwa kya Katonda eky’okutonda, n’okufaayo kwe okw’eccaama obikwekeddwa mu musaalaba mu myaka gyange egy’obukrisitaayo egy’asooka. Nga maze okuyitibwa ng’omubuulizi w’enjiri, N’entandika okw’ebuuza, “Nnyinza ntya okukulembera abantu abawerera ddala eri obulokozi Katonda ekitiibwa n’ekimuddizibwa?” Kye kyava kinzigira nti nali nina okutegeera ebigambo byonna ebiri mu Baibuli, omuli n’ebyawandiikibwa ebizibu okutegeera nga Katonda abinambululira ndyoke mbibuulire eri ensi yonna. N’asiibanga nga nnyo nga bwekisoboka nga nkisabira. Emyaka musanvu egyayitawo Katonda n’alyoka atandika okubindaga.
Mu mwaka gwa 1985, Nali nsaba n’amaanyi gange gonna, n’enzijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu. N’atandika okunzivunulira ebyama by’okufaayo kwa Katonda ebyali bikwekeddwa. Bwali Obubaka Bw’omusalaba. Nabubuulira mu buli kusaba kw’okusande okw’okumakya okumala wiiki 21. Obutambi bwa Leediyo obwakwatibwa ku Bubaka Bw’omusaalaba bukutte ku bantu bangi mu nsi yange n’ebunaayira. Buli Obubaka bw’omusalaba we bwa buulirwanga, Mwoyo mutukuvu yakolanga nga bwolaba omuliro ogubumbujja. Abantu bangi beenenyanga ebibi byabwe, era bawoonyezebwanga endwadde ez’abuli kika. Baasuulanga eri okubusabusa kw’ebalina eri okufaayo kwa Katonda, n’ebafuna okukkiriza okutuufu n’obulamu obutaggwawo. Nga tebannawulira bubaka buno, baali tebamanyi Katonda n’akwagala kwe okw’annama ddala kwennyini. Baatandika okutegeera enteekateeka za Katonda, n’ebaMusisinkana, n’ebatandika n’okuba n’essuubi ly’obulamu obutaggwawo okuyita mu bubaka buno.
Bw’otegeera obulungi lwaki Katonda yateeka omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi mu lusuku Edeni, osobola okutegeera okufaayo Kwe eri omuntu ku nsi era oba ojja kweyongera n’okuMwagala n’omutima gwo gwonna. Ekirala okumanya ekigendererwa ky’ennyini eky’obulamu bwo, ojja kuba osobola okulwanisa ebibi byo okutuuka n’ekussa ly’okuyiwa omusaayi. Ng’ogezaako nnyo okulaba nti ofanaana omutima gw’omulokozi Yesu Kristo, n’okuba ow’amazima eri Katonda okutuuka ku ssa ly’okufa.
Obubaka bw’Omusalaba kijja ku kulaga okufaayo kwa Katonda okwekusifu, okubadde kukwekeddwa mu musaalaba, era kikuyambe n’okuzimba omusingi omugumu ogw’obulamu obw’amazima era obutuufu obw’omukrisitaayo. N’olwekyo, buli muntu asoma ekitabo kino ajja kuba asobola okutegeera okufaayo kwa Katonda okw’amaanyi n’okwagala Kwe, ajja kuba asobola okuba n’okukkiriza okutuufu, n’okutandika era n’okutambulira mu bulamu obw’ekikristaayo obusanyusa mu maaso Ge.